Genesis 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka eggwanga lye baliweereza mu buddu nze ndirisalira omusango; oluvannyuma balivaayo nga balina ebintu bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndibonereza eggwanga lye balikolera n’oluvannyuma balivaayo n’obugagga bungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggwanga eryo ezzadde lyo lye liriweereza, ndirisalira omusango, n'oluvannyuma ezzadde lyo ndiriggyayo nga lirina ebintu bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndibonereza eggwanga eryo eriribafuga obuddu, olwo ne balivaamu nga balina ebintu bingi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi.