Genesis 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu zzadde eryokuna lwe balikomawo wano; anti n'okutuusa kati obwonoonefu bw'Abaamori buliba tebunafundikira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era balikomawo wano mu mulembe ogwokuna; kubanga obutali butuukirivu bw’Omwamoli tebunnayitirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezzadde lyo lirikomawo mu nsi eno mu mulembe ogwokuna, kubanga okwonoona kw'Abamoli kuliba kuyitiridde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu bo balikomawo wano, mu mulembe ogwokuna, kubanga obwonoonyi bw'Abaamori tebunnayitirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mirembe egy'okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw'Omwamoli tebunnatuukirira.