Genesis 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba bwe yagwa, obudde ne bukwatira ddala; awo ne wabaawo ekkoomi erinyooka n'ekitawuliro ky'omuliro ekibumbujja nga kiyita wakati w'ebiwayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba bwe yagwa ng’ekizikiza kikutte, laba, ensuwa eyaka omuliro era enyooka omukka n’ekimulisa ne biyita wakati w’ebitundu bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ennyama y'ensolo ebyateekebwateekebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo enjuba bwe yamala okugwa, nga n'ekizikiza kikutte, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne birabika nga biyita wakati w'ebitundu by'ensolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo.