Genesis 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama yakuba endagaano ne Aburaamu ng'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiwa ensi eno okuva ku mugga gw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene Furaati,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo Mukama n’akola endagaano ne Ibulaamu ng’agamba nti, “Ezadde lyo ndiwa ensi eno, okuva ku mugga ogw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Mukama n'akola endagaano ne Ibulaamu, n'amugamba nti, “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, Fulaati;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, Mukama n'akola endagaano ne Aburaamu, n'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga gw'e Misiri, okutuuka ku mugga omunene Ewufuraate,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo Mukama n'alagaana ne Ibulaamu, ng'ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati: