Genesis 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'ayongerako nti: “Wuuno tompadde zzadde, bw'atyo musajja wange y'anaaba omusika wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu ne yeeyongera n’agamba nti, “Laba tompadde mwana; omuddu eyazaalibwa mu nnyumba yange ye musika wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nze tompadde zadde, oyo eyazaalibwa mu nnyumba yange ye alinsikira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze tewampa mwana, era omuddu eyazaalibwa mu maka gange ye musika wange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulaamu n'ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange.