Genesis 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekigambo ky'Omukama ne kimujjira nti: “Oyo si y'anaakusikira, wabula gwe weezaalidde yennyini ye w'okukusikira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, “Omusajja oyo tagenda kuba musika wo; mutabani wo, y’aliba omusika wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Omuddu oyo taliba musika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini, ye alikusikira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'awulira nga Mukama amugamba nti: “Omuddu oyo si ye aliba omusika wo, naye omwana gw'olizaala ggwe wennyini ye alikusikira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo.