Genesis 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'amufulumya ebweru n'amugamba nti: “Tunuulira eggulu; kale bala emmunyeenye oba osobola.” N'amugamba nti: “Ezzadde lyo bwe liriba lityo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amufulumya ebweru n’amugamba nti, “Tunuulira eggulu, obale emunyeenye, obanga osobola okuzibala.” Awo n’amugamba nti, “N’ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti, “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, eziririko, oba nga oyinza.” N'amugamba nti, “n'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'atwala Aburaamu ebweru, n'agamba nti: “Tunuulira eggulu, obale emmunyeenye, bw'oba ng'oyinza okuzibala.” Era n'amugamba nti: “N'ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo obungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw'onooyinza okuzibala: n'amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.