Genesis 15:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama mu kwanukula n'agamba nti: “Nfunira ennyana ey'emyaka esatu, n'embuzi enduusi ey'emyaka esatu, n'endiga ennume ey'emyaka esatu, n'ejjiba n'enjiibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amuddamu nti, “Ndeetera ennyana eyaakamala emyaka esatu, embuzi ey’emyaka esatu, endiga ensajja ey’emyaka esatu, kaamukuukulu n’ejjiba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Ndeetera wano ente enkazi ewezezza emyaka esatu, n'embuzi enkazi ewezezza emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Ndeetera ente ennyana, n'embuzi enduusi, n'endiga eya sseddume, nga zonna za myaka esatu, era leeta ejjiba n'enjiibwa ento.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.