Genesis 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale nnyo, nga terikyabalika olw'obungi bwalyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ndikuwa ezzadde lingi nnyo, nga terisoboka na kubalika olw'obungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama era n'amugamba nti: “Ndikuwa abazzukulu bangi nnyo, abatasobola na kubalika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi.