Genesis 16:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono aliba musajja ndogoyi ya ttale; alirwanyisa buli omu, na bonna balimulwanyisa; obulamu bwe wa kulumbagananga baganda be bonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aliba ng’entulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era aliba ng'ensolo ey'omu nsiko etefugika. Anaalwanaga na buli muntu, era buli muntu anaalwananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mutabani wo aliba ng'entulege. Anaalwanagananga na buli muntu, era buli muntu anaalwanagananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna.