Genesis 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agari n'atuuma Omukama eyali ayogera naye: 'Oli-Katonda-Andaba', kubanga yagamba nti: “Kituufu, wano ndabiddewo omugongo gw'oyo andaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agali n'ayita Mukama eyayogera naye erinnya nti, “Ggwe Katonda alaba.” Kubanga yeebuuza nti, “Ddala ndabye Katonda ne nsigala nga ndi mulamu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agari n'ayita Mukama eyayogera naye, nti: “Katonda alaba. ” Kubanga yagamba nti: “Ddala ndabye ku Katonda, ne nsigala nga ndi mulamu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, nti Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuulidde oyo andaba?