Genesis 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Agari yazaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'atuuma mutabani we Agari gwe yamuzaalira Yisimayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana oyo erinnya Isimaeri
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Agari n'azaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'amutuuma erinnya Yisimayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri.