Genesis 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sarayi n'agamba bba nti: “Wuuno Omukama annyimye okuzaala; genda eri omuzaana wange, oboolyawo mu oyo mwe nnaafunira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Sarayi kye yali amusabye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Laba nno, Mukama nze anziyizza okuzaala; nkwegayiridde, twala omuzaana wange ono, oboolyawo alinzaalira abaana.” Ibulaamu n'akkiriza Salaayi by'amugambye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Mukama anziyizza okuzaala. Twala omuzaana wange, oboolyawo alinzaalira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Saraayi by'amugambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi.