Genesis 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sarayi yaddira Agari Omumisiri, omuzaana we, n'amuwa bba abeere mukazi we. Waali waakayita emyaka kkumi bukya Aburaamu asenga mu Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu yali yakamala emyaka kkumi ng'atudde mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we, n'amuwa Agali, omuzaana we Omumisiri, okuba mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu bwe yali nga yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanaani, mukazi we Saraayi n'amuwa Agari omuzaana we Omumisiri, abe mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we.