Genesis 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'agenda gy'ali, Agari n'afuna olubuto. Bwe yamanya ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n'aba olubuto. Awo Agali bwe yalaba ng'ali lubuto n'anyooma mugole we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu ne yeegatta ne Agari, Agari n'aba olubuto. Agari, bwe yalaba ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge.