Genesis 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sarayi ne yeemulugunyiza Aburaamu nti: “Nvumibwa lwa kubeera ggwe; nze nassa omuzaana wange mu mikono gyo; kati wuuli alabye ali lubuto, annyooma. Omukama y'aba atusalirawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Mukama asalewo ani mutuufu wakati wo nange, kubanga nze nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo, naye bw'alabye ng'ali lubuto, n'annyooma, naye naawe tofuddeyo kumunenya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saraayi n'agamba Aburaamu nti: “Ekibi ekinkoleddwa kiddire ggwe. Nakuwa omuzaana wange. Kale bwe yalaba ng'ali lubuto, n'annyooma. Mukama asalewo omutuufu wakati wo nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe.