Genesis 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu n'amwanukula nti: “Anti muzaana wo, ali mu buyinza bwo; mukole nga bw'olaba.” Sarayi n'atulugunya Agari, Agari n'amudduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti, “Laba, Agali muzaana wo, ggw'omulinako obuyinza, mukole nga bw'oyagala.” Salaayi n'alyoka akambuwalira nnyo Agali, Agali n'amuddukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburaamu n'agamba Saraayi nti: “Ndaba ono muzaana wo, era ali mu mikono gyo! Mukole ky'oyagala!” Awo Saraayi n'akambuwalira nnyo Agari, Agari n'amuddukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge.