Genesis 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'asanga Agari okumpi n'oluzzi mu ddungu, ku luzzi oluli ku kkubo eriraga e Suru,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agali mu ddungu, awali oluzzi, mu kkubo eriraga e Ssuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agari awali oluzzi mu ddungu, mu kkubo eriraga e Suuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli.