Genesis 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amubuuza nti: “Agari, omuzaana wa Sarayi, ova wa? Ate ogenda wa?” Ye n'ayanukula nti: “Nziruka Sarayi mugole wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Agali, omuzaana wa Salaayi, ova wa, era ogenda wa?” Agali n'amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Agari, omuzaana wa Saraayi, ova wa, era ogenda wa?” Agari n'amuddamu nti: “Nziruka mugole wange Saraayi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi.