Genesis 17:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aburaamu bwe yali aweza emyaka kyenda mu mwenda, Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza wa buli kantu. Beera nange, era mu maaso gange tobaako musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda (99) Mukama n'amulabikira n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu biragiro byange obeerenga mutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Aburaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinzawaabyonna. Ompuliranga, era okolanga ebituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu.