Genesis 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye ndagaano yange, gye mulikuuma wakati wange nammwe n'ezzadde lyo eririkuddirira: Mu mmwe buli musajja wa kutayirirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, wakati wange naawe, n'ezzadde lyo: buli musajja mu mmwe anaakomolwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eno ye ndagaano wakati wammwe nange, ggwe ne bazzukulu bo, gye munaakuumanga: buli musajja mu mmwe, anaakomolwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga.