Genesis 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwana wammwe omulenzi awezezza ennaku omunaana wa kutayirirwa; buli musajja yenna amazadde gammwe gonna, abeere wa waka, oba wamugula ku mugwira yenna, kwe kugamba atali wa mu zadde lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mwana omulenzi anaazaalibwanga mu maka gammwe anaakomolwanga ng'awezezza ennaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abaazaalirwa mu nnyumba zammwe n'abo abagulibwa obugulibwa n'ebintu okuva mu bannamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva kati okutuusa emirembe gyonna, buli mwana ow'obulenzi mu mmwe, anaakomolebwanga nga wa nnaku munaana. Kino kitwaliramu abaddu abazaalirwa mu maka gammwe, ne be mugula mu bagwira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwanga mu nnyumba, era n'oyomunnaggwanga yenna gw'anaabaguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe.