Genesis 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Owa waka ne gw'oguze bateekwanga okutayirirwa. Endagaano yange eno nga neeyamba emibiri gyammwe ndagaano ya lubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anaazaalirwanga mu maka gammwe, na buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli azaalirwa mu maka gammwe, ne buli gwe mugula, anaakomolebwanga, era ako ke kanaabanga akabonero ku mubiri gwammwe, ak'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwanira okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba.