Genesis 17:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja atali mukomole, oyo ataatayirirwa mu mubiri, ajja kukutulwanga ku bantu be; anaabanga amenye endagaano yange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga ab'amenye endagaano yange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli musajja atakomoleddwa, taabalirwenga mu bantu bange, kubanga aba amenye endagaano yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange.