Genesis 17:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Sarayi, mukazi wo, tokyamuyitanga Sarayi, wabula erinnya lye anaayitibwanga Saara.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Mukazi wo tokyamuyitanga Salaayi, naye erinnya lye linaabanga Saala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Mukazi wo tokyamuyita Saraayi. Okuva kati, Saara lye linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi wo, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye.