Genesis 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumuwa omukisa, era nzija kukuwa omwana ow'obulenzi mu ye; nzija kumuwa omukisa, amawanga galisibuka mu ye; bakabaka b'amawanga balisibuka mu ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndimuwa omukisa, era alikuzaalira omwana ow'obulenzi. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga; ne mu zzadde lye mulivaamu bakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimuwa omukisa era naawe ndikuwa omwana ow'obulenzi mu ye. Ddala ndimuwa omukisa, era aliba nnyina w'amawanga. Mu bazzukulu be mulibaamu bakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye.