Genesis 17:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba nti: “Ky'ekyo, naye Saara mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi, olimuyita erinnya lye Yizaake. Nzija kunyweza endagaano yange naye, nga ye ndagaano ey'olubeerera n'ezzadde lye eririmuddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera nti, “Nedda, Saala mukazi wo alikuzaalira omwana ow'obulenzi, naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka. Naanywezanga endagaano yange naye, n'ezzadde lye emirembe gyonna, okuba endagaano eteriggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Nedda, mukazi wo Saara alikuzaalira omwana ow'obulenzi, era olimutuuma erinnya Yisaaka. Ndinyweza endagaano yange naye era ne bazzukulu be, n'eba ya mirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: nange naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo.