Genesis 17:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne by'ogambye ku Yisimayeli mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, ndimuwa azaale, ayale nnyo nnyo; alizaala abalangira kkumi na babiri, ndimufuula eggwanga eddene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne by'osabidde Isimaeri mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, era ndimuwa ezzadde lingi nnyo, ndimufuula eggwanga eddene, era alivaamu abalangira kkumi na babiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne by'osabidde Yisimayeli mbiwulidde. Kale ndimuwa omukisa, era ndimuwa abaana bangi, n'abazzukulu bangi nnyo. Alizaala abakungu kkumi na babiri, era bazzukulu be ndibafuula eggwanga eddene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebya Isimaeri, nkuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene.