Genesis 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yo endagaano yange nzija kuginyweza ne Yizaake Saara gw'alizaala mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye endagaano yange n'aginywezanga na Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu kiseera ekyateekebwawo, omwaka ogujja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye endagaano yange ndiginyweza na mutabani wo Yisaaka, Saara gw'alikuzaalira mu biseera nga bino omwaka ogujja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja.