Genesis 17:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini, Yiburayimu n'addira Yisimayeli mutabani we ne bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne bonna be yali aguze, kwe kugamba, abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, n'abatayirira, nga Katonda bwe yali amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo lwennyini, Ibulayimu n'akomola mutabani we Isimaeri, n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo lwennyini, Aburahamu n'akomola mutabani we Yisimayeli n'abaddu bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne be yagula, era n'abasajja bonna ab'omu maka ge, nga Katonda bwe yamugamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba.