Genesis 17:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye abaali bazaaliddwa omwo ne be yali aguze ku bagwira, bonna baatayirirwa wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bannamawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
awamu n'abasajja bonna ab'omu maka ge, abaazaalirwamu ne be yagula ku bagwira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye.