Genesis 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tokyaddayo kuyitibwa Aburaamu, wabula ojja kuyitibwanga Yiburayimu, kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erinnya lyo terikyali Ibulaamu nate, naye erinnya lyo linayitibwanga Ibulayimu; kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tokyayitibwanga Aburaamu, naye erinnya lyo linaabanga Aburahamu, kubanga nkufudde jjajja w'amawanga amangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.