Genesis 17:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Naawe okuumanga endagaano yange n'ezzadde lyo eririkuddirira mu mazadde n'amazadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti, “Ggwe n'ezzadde lyo munaakwatanga endagaano yange emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Aburahamu nti: “Kale naawe wamu ne bazzukulu bo, munaakuumanga endagaano yange emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna.