Genesis 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yalabikira Yiburayimu okumpi n'omuvule omunene ogwa Mamure bwe yali ng'atudde mu mulyango gwa weema ye mu ttuntu ly'olunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amulabikira Ibulayimu mu ttuntu, bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye, awali emivule gy'e Mamule;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'alabikira Aburahamu awali omuvule gwa Mamure. Aburahamu bwe yali ng'atudde mu mulyango gw'eweema ye mu ttuntu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amulabikira awali emivule gya Mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu;