Genesis 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Mazima ndidda gy'oli mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino. Olwo mukazi wo Saara aliba alina omwana wa bulenzi.” Saara yali awuliriza mu mulyango gwa weema eyali emabega wa Yiburayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi.” Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu kubo n'amugamba nti, “Omwaka ogujja mukiseera nga kino, ŋŋenda kukomawo, era Saala mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saala yali munda mu weema, n'awulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, nja kukomawo, era Saara mukazi wo aliba azadde omwana ow'obulenzi.” Saara yali mabega wa Aburahamu ku mulyango gw'eweema, ng'awulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we.