Genesis 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bombi Yiburayimu ne Saara baali bakadde nga bayise mu myaka, nga ne Saara ayise mu myaka egy'okuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu ne Saara baali bakaddiye nnyo, Saara nga takyabeera mu biseera by'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri.