Genesis 18:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saara n'aseka muli munda ng'agamba nti: “Nze aweddeyo nti: ate ne baze akaddiye, nkyaddayo okufuna essanyu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, “Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti, “Nze akaddiye bwenti, era ne baze naye ng'akaddiye, nkyasobola okufuna essanyu eryo ery'obufumbo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saara n'aseka munda ye, n'agamba nti: “Nga bwe mmaze okukaddiwa bwe nti, era nga ne baze naye akaddiye, nkyasobola okufuna ku ssanyu eryo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Saala n'aseka munda ye, ng'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye?