Genesis 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Mukama waliwo ekitasoboka? Ndikomawo gy'oli mu budde nga buno bwennyini, Saara aliba alina omwana wa bulenzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo ekirema Mukama? Omwaka ogujja, mu kiseera kyennyini, ndikomawo gy’oli, ne Saala alizaala omwana owoobulenzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo ekirema Mukama? Nga bwe n'agambye, ndikomawo mu kiseera nga kino, omwaka ogujja era Saala aliba azadde omwana ow'obulenzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo ekizibuwalira Mukama? Nga bwe nagambye, ndikomawo wano mu kiseera nga kino omwaka ogujja, era Saara aliba azadde omwana wa bulenzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo ekirema Mukama? Mubiro ebyateekebwawo ndikomawo w'oli, ekiseera bwe kiridda, ne Saala alizaala omwana ow'obulenzi.