Genesis 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne basituka okugenda, amaaso ne bagoolekeza Sodoma, ne Yiburayimu n'agenda nabo okubawerekerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja bwe bavaayo ne bagenda, ne boolekera oluuyi lwa Sodomu; Ibulayimu n’abawerekerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ne basituka ne bavaawo, ne bagenda mu kifo we bayinza okulengerera Sodoma. Ibulayimu nabawerekerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ne basituka, ne balaga mu kifo we balengerera Sodoma. Aburahamu n'agenda nabo okubawerekerako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ne bagolokoka okuva eyo, ne batunuulira e Sodoma: Ibulayimu n'agenda nabo okubawerekerako.