Genesis 18:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti namulonda alagire batabani be n'ennyumba ye erimuddirira, bakuume ekkubo ly'Omukama, bakole ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu, Omukama bw'atyo atuukirize eri Yiburayimu byonna bye yamusuubiza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmulonze alagire abaana be n’abantu be abaliddawo okukwatanga ekkubo lya Mukama nga bakola eby’obutuukirivu era nga ba mazima, Mukama alyoke atuukirize ekyo kye yasuubiza Ibulayimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyennava mmulonda, alyoke ayigirize abaana be n'abazzukulu, okukwatanga n'okugonderanga ebiragiro byange, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennava mmulonda, alyoke alagire abaana be ne bazzukulu be okumpuliranga, nga bakola ebituufu n'eby'amazima, ndyoke ntuukirize bye namusuubiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyennava mmumanya, alyoke abalagire abaana be n'ennyumba ye eriddawo, okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby'obutuukirivu n'eby'ensonga; Mukama alyoke aleete ku Ibulayimu bye yamwogerako.