Genesis 18:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yayimusa amaaso, n'alaba abasajja basatu nga bamuyimiridde kumpi. Bwe yabalaba, n'addukanako okugenda okubasisinkana ng'ava eno ku weema ye, n'avunnama ku ttaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayimusa amaaso ge n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde; n'adduka mbiro okubasisinkana, ne yeeyala ku ttaka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ayimusa amaaso ge, n'alengera abasajja basatu nga bayimiridde. Bwe yabalaba, n'adduka mbiro okubasisinkana. N'avuunama ku ttaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge: awo bwe yabalaba, n'ava mu mulyango gw'eweema n'adduka mbiro okubasisinkana, n'avuunama,