Genesis 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba nti: “Okukuba emiranga okw'e Sodoma ne Gomorra nga kweyongedde, n'ekibi kye nga kigezze nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba nti, “Olw’okunkaabirira okusukkiridde olw’ebibi bya Sodomu ne Ggomola ebingi ennyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Kubanga okwemulugunya olw'obubi obungi obuli mu Sodoma ne Ggomola kunene nnyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Okwemulugunyiza Sodoma ne Gomora nga bwe kuli okungi, era abaayo nga bwe bali aboonoonyi ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Kubanga okukaaba okw'e Sodoma ne Ggomola kunene, era kubanga okwonoona kwabwe kwa kitalo: