Genesis 18:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ka nserengeteyo, ndabe oba omulanga gwakyo oguntuuseeko ddala kye kugamba bwe kityo bwe kiri; oba nedda, nzija kumanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nzija kukka ndabe obanga ddala bakozi ba bibi ng’okunkaabirira olw’ebibi byabwe okutuuse gye ndi bwe kuli, era obanga si bwe kiri nnaamanya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kaakano nnakka ndabe nga bakolera ddala ng'okw'emulugunya okwo okwantuukako bwe kuli, era oba si bwe kityo, naamanya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ka nzikeyo mmanyire ddala oba ng'ebyogerwa ne bintuukako bituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng'okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, naamanya.