Genesis 18:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne bafunyamu okuva awo, ne boolekera Sodoma; kyokka ye Yiburayimu yasigala akyayimiridde mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ne bakyuka okuva awo, ne batambula okwolekera Sodomu; naye Ibulayimu n’asigala ng’akyayimiridde mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ababiri kubo ne bavaayo, ne bagenda e Sodoma; naye Ibulayimu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ababiri ne bavaawo ne balaga e Sodoma, naye Aburahamu n'asigala ng'ayimiridde mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e Sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama.