Genesis 18:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kibuga bwe munaabaamu amakumi ataano abatuufu, ddala onookisaanyaawo? Ekifo tookisonyiwe olw'abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano (50); era onookizikiriza n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu abo ataano (50) abakirimu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibuga bwe munaabeeramu abantu amakumi ataano abatalina musango, onoozikiriza ekibuga kyonna, n'otokisonyiwa olw'abatalina musango amakumi ataano abakirimu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu?