Genesis 18:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kikafuuwe ggwe ekyo okukikola: okutta omutuukirivu wamu n'omubi; oyise kimu omutuukirivu n'omubi? Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutagoba bwenkanya? Kikafuuwe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toyinza kukola ekyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi. Ddala toyinza kubonereza batuukirivu awamu n'ababi. Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toyinza kukola ekyo, okutta abatalina musango awamu n'abalina musango. Ekyo toyinza kukikola, okubonereza abatalina musango. Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutasala mazima?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitalo okole bw'otyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi, n'okwenkana abatuukirivu ne benkana n'ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu?