Genesis 18:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'addamu nti: “E Sodoma mu kibuga bwe nnaasangamu amakumi ataano abatuukirivu, olw'okubeera abo, ekifo kyonna nzija kukitaliza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Bwe nnaalaba mu kibuga Sodoma abatuukirivu ataano (50), nja kusonyiwa ekifo kyonna ku lwabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba nti: “Bwe nnaasanga mu Sodoma abantu amakumi ataano abatalina musango, nja kusonyiwa ekibuga kyonna olw'okubeera bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Bwe nnaalaba mu Sodoma abatuukirivu ataano munda mu kibuga, ne ndyoka nsonyiwa ekifo kyonna ku bwabwe.