Genesis 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'ayanukula n'agamba nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange newandibadde nga ndi nfuufu, ndi vvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti, “Nsonyiwa, nze enfuufu obufuufu n'evvu, okwetantala okwogera naawe Mukama afuga byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'addamu nti: “Nsonyiwa, nze omuntu obuntu, okuguma okwogera naawe Afugabyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu bu fuufu n'evvu: