Genesis 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitya, bw'onoosanga nga ku makumi ataano kubuzeeko bataano abatuukirivu? Ekibuga onookizikiriza kubanga abataano babuzeeko?” N'agamba nti: “Bwe nnaasangayo amakumi ana mu abataano sijja kuzikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?” N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa ku batuukirivu ataano (50) kunaabulako abataano; era onoozikiriza ekibuga kyonna olw'abataano abo ababulako?” N'addamu nti, “sijja kukizikiriza bwe nnaalabamu ana mu abataano (45).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye singa ku makumi ataano abatalina musango, kunaabulako abataano, era onoozikiriza ekibuga kyonna, kubanga abataano babulako?” Mukama naddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu amakumi ana mu abataano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mpozzi ku batuukirivu ataano kunaabulako abataano: olizikiriza ekibuga kyonna kubanga abataano babulako? N'ayogera nti Sirikizikiriza bwe nnaalabayo ana mu abataano.