Genesis 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'addamu okumusaba nti: “Oba oli awo eneesangibwayo makumi ana?” N'agamba nti: “Olw'okubeera amakumi ana ago, sijja kuzikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.” Mukama n’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ibulayimu n'ayogera naye nate nti, “Singa munaabamu ana (40)?” Mukama n'addamu nti, “Siikole bwe ntyo ku lw'abo ana (40).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu era n'agamba nti: “Oboolyawo munaasangibwamu amakumi ana bokka.” Mukama n'addamu nti: “Olw'amakumi ana, sijja kukizikiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera naye nate era nti Mpozzi munaalabikamu ana. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo ku bw'ana.